Friday, June 28, 2024
HomeKadongo KamuSam Wange Lyrics – Fred Ssebatta

Emikwano giba gy’akabi Sam ky’ekyo
Nange nkyerabiddeko
Kubanga ekibonyabonya obulamu bwange
Mpulira nkwagala
Maama ekinsagambiza nze obudde okukya
Ate era nenzibya
Mpulira nkwagala kufa simanyi kwekiva
Ye mukwano wankolaki?
Bangi abalumizibwa baleke balumwe
Ate banaddawa?
Bulikya nembatuulira nze nemba mu maka
Ate balimpitawa?
Taata nkozze nnyo simanyi kwekiva
Wulira bwenkudaagira darli wange

Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Omulenzi wange
Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Sam gyali

Maama n’akola ntya kulwange kaŋŋume
Ate nze naddawa?
Wabula ekintu kyendabye nze ntuuse okufa
Kulwabo b’olina
Bangi abampalanira omulenzi wange
Naye maama ne nsirika, aah
Mbalaba nga kibaluma kinene
Naye ate nze nsinga
Bangi nnyo abaagala Sam
Era nange abangeya
Wadde nga ssi muntu wa nsimbi
Naye mpulira mmwagala
Kaakati twafuuka ba mmamba
Buli omu bambi awaana yiye
Baleke balumwe bambi

Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Omulenzi wange
Kimuli kyange akasana akaberyeberye
Sam gyali
Aah, eeh, eih
Aah, eeh, eih

Naye abalindabisa ku lunaku luli
Ku mbaga ey’obugole ah
Kale kibeera kitya nga ku gwe kwendaba
Ng’ate tutudde wamu
Nga bangi abatukulisa ng’era ddala ky’ekyo
Nange nkyerabirako
Bulabo obututonerwa nabwo nga kwendaba
Nga bingi ebitubuulirwa
Nga batukuutira ffenna tukuumagane
Mu bulungi ne mu bubi
Oba naawe onjagala bambi
Kiki ekikwekomommya?
Kiki ekiryawukanya obulamu bwange
Okumpi n’obubwo?
Bwoba naawe onjagala taata
Kiki ekikwekomommya?
Kiki ekiryawukanya obulamu bwaffe?
K’ate nkubuuzemu
Byonna bisabwa busabwa
Naffe tusabe nnyo bambi
Naffe tuzaaleyo akaana
Bambi kayite ku maama
Erudda kayite ku taata
Ekirabo kyaffe bambi, Sam wange

Nze nange njagala nnyo okufuna ku maka
Naye nnyabo ebizibu by’ebingi
Kansabe Katonda ampe nga nange bwe mpakasa
Byonna ebyo Katonda y’ayamba
Kale kibeera kitya ng’oyingidde mu maka
Ng’erinnya erimpitibwa lya mwami
Rehemah ekintu kye ndabye towankawankanga
Ekyo kyo kibeera kibi ttaabu
Oyina kulinda nnyo ate ogumiikirize
Okutuusa wendifunira ensimbi
Wabula mwanamuwala teweerariikirira
Oyinza okulowooza nti nnimbye
Ndese kubye akawuna kawoolere
Taata omundabira nnyo ŋŋenze
But keep our love, secretly

Nkulaba b’obibuulira bangi
Guluma guluma (guluma maama)
Omukwano guba gwakabi ttaabu
(Era nange nkyerabiddeko ky’ekyo)
Laba nkaaba, nsinda (aah, aah)
Emikwano giba gya kabi ttaabu
(Eh, eh guluma!)
Guluma (eeeh)
Omukwano guba gwakabi ttaabu
(Eh, kyokka nze nange nkaabira muto nga gwe)
Guluma (maama)
Omukwano guno guluma (eeh)
(Eri abo abatalina balumwa)
Ate eri abo abatalina balumwa (nkaaba)
Nkaaba, nsinda
Omukwano guba gwakabi ttaabu
Laba ndaaga nkaaba
Omukwano guluma bubi nkirabye

Popular posts

My favorites

We're social

0FansLike
211FollowersFollow
0SubscribersSubscribe