Monday, July 1, 2024
HomeKadongo KamuEbbuba Eringi Lyrics – Abdu Mulaasi

Abamanyi ebyange batega matu
Kasita bawulira Abdu ne basembera
Abamanyi ebyange batega matu
Kasita bawulira Abdu ne basembera
Nnyimbisa eddoboozi liba lya ggono
Ngaziya obwongo nembusensula
Ebigambo ebyange biva mu katwe
Ate kizibu okakasa nti sibigula
Kye naayimba ndoota n’ekiro
Ndowooza ndiko emizimu giba gya kika
Ngaziya obwongo nembusensula
Nembaka ekitabo nembakwatako
Kati tunyumye emboozi
Ndeese ya bbuba erisusse ku gage
Ndaba ofeelinga bad
Lwaki love yo ogitadde ku top?
Toliba ng’ono
Muka musawo oli abubira mu takisi
Ebbuba eringi lyamulemesa
Okukola kaakati asuza nguuli

Ebbuba eringi likulemya
Nemuganzi wo n’akunyiwa
Eyali alemerako
Twamuleka mu bbaala ng’alobeddeyo
Omukazi yeekuuma lulwe
Muwe ekyanya ki olemerako?
Ebbuba eringi likulemya
Nemuganzi wo n’akunyiwa
Eyali alemerako
Twamuleka mu bbaala ng’alobeddeyo
Omukazi yeekuuma lulwe
Muwe ekyanya ki olemerako?

Ebbuba likole ng’oli ku kato
Nga gwe wagoba embuzi ye n’ogikutula
Naye gw’osanze ng’abala ebiyu
Ebbuba lya quarter ly’obeera opima
Manya waliyo abalala abaakusookako
Ate kizibu okakasa nti yabalese
Nebba wa musawo ebbuba ly’alina
Lyamulemesa okukola n’agwa n’eddalu
Ng’abubira n’embwa y’awaka
Ng’eya muliraanwa egikyaddeko
Yalina omukazi ng’anyirira nnyo
Nga naawe bw’omulaba asaanira ayina
Neewunya musawo enjaka gy’ayawaka
Okufumbirwa akaami nsimbizaabuze
Bbuba ly’akalemya okwekoleranga
Nekadda mu kuuma mukuba mpiso
Oli yali mukuumi
Ng’abula mmundu afaanane omujaasi
Ng’ebbuba limuwuuba
Nga ne gy’afumitira empiso amulumba
Kko nze bakulimba
Kamukwaneko kiki atulemesa!
Linda owulire

Ebbuba eringi likulemya
Nemuganzi wo n’akunyiwa
Eyali alemerako
Twamuleka mu bbaala ng’alobeddeyo
Omukazi yeekuuma lulwe
Muwe ekyanya ki olemerako?
Ebbuba eringi likulemya
Nemuganzi wo n’akunyiwa
Eyali alemerako
Twamuleka mu bbaala ng’alobeddeyo
Omukazi yeekuuma lulwe
Muwe ekyanya ki olemerako?

Nanoonya nnyo bwembitandika
Kko nze omugezi alwala lwa kiro
Nenoonya olumbe oluntusaayo
Nsobole oganza mwanamuwala
Nasanga akaami kalemeddeko
Nga kakirako omusalasiini ayigga
Neŋŋamba musawo nti ndwadde nnyo
Osaana okebere olumbe lwe nina
N’anzikiriza ankebereko
Mu kasenge k’abalwadde gye mba mbeera
Musawo n’aleeta bino ebikebera
Ng’endwadde gye ndwadde tebigibala!
N’ankwatako katono mu kutu
Neneesisiwala akamukanga!
Musawo n’ambuuza nti obadde otya?
Kye nali ndwadde nenkiyatula
N’aŋŋamba bba wange ankuuma nnyo
Yammalako eddembe ne bakaasitoma
Nemmuwa amagezi n’agakozesa
Linda owulire obwongo bwe nina
Yali asaaga

Omukazi abeera wuwo
Ng’ali mu kitanda kyo ekyomunju
Naye kaalitambula
Abeera waffe fenna abamukwana
Yalina ebbuba eribi
Nga ne mu kayigo amulumbayo
Obudde bwali misana
Ng’anaaba ayimba akamusanyusa
Nti eyakuuma bbanka baagimubbako
Naye ow’omuggo y’alibalema?
Katulinde omuggo bwegulikutuka
Ojja kusanga ababbi abeetikkirako
Olwo ebbuba nelimusituka
N’akangabala alingirizeeyo
Obwana bwamulaba nebumutandika
Wabula neigbour alingirija nnyo
Oba ki ky’atunuulira ekimukanje!
Musawo n’awulira n’akitegeera
Ku Christmas ewedde
N’amugamba tucakaleko
Musawo n’akasimu n’akankubira
Nti akkiriza tucakaleko
Nemmuwa ssente z’amuteekamu
Ng’oli mu kunywa omwenge anyenya n’emiti

Ebbuba eringi likulemya
Nemuganzi wo n’akunyiwa
Eyali alemerako
Twamuleka mu bbaala ng’alobeddeyo
Omukazi yeekuuma lulwe
Muwe ekyanya ki olemerako?
Ebbuba eringi likulemya
Nemuganzi wo n’akunyiwa
Eyali alemerako
Twamuleka mu bbaala ng’alobeddeyo
Omukazi yeekuuma lulwe
Muwe ekyanya ki olemerako?

Omwavu awoomerwa omugule
Ebbuba lyamulemya okugenda akole
Kko nze kangule omwenge anaakimanya nkya
Nti gwatamidde gwa musiguze
Natuula kumpi we baali batudde
Nga bwe ngira musawo nemutemyako
Kasajja kaagaana okutamiiruka
Musawo n’ayiiya geyali ayina
Yayina obuweke mu kasawo ke
N’abusuula mu ccupa mwe kaali kanywera
Okuwunzika eccupa nga kayoya tulo
Musawo n’ambuuza nti tulikuki?
Namugamba Prado gyoba olinnya
Namuleka mu bbaala ng’alobeddeyo
Musawo neŋŋenda n’angijanjaba
Nabalaga omukazi yekuuma lulwe

Ebbuba eringi likulemya
Nemuganzi wo n’akunyiwa
Eyali alemerako
Twamuleka mu bbaala ng’alobeddeyo
Omukazi yeekuuma lulwe
Muwe ekyanya ki olemerako?
Ebbuba eringi likulemya
Nemuganzi wo n’akunyiwa
Eyali alemerako
Twamuleka mu bbaala ng’alobeddeyo
Omukazi yeekuuma lulwe
Muwe ekyanya ki olemerako?

Popular posts

My favorites

We're social

0FansLike
211FollowersFollow
0SubscribersSubscribe