Monday, July 1, 2024
HomeKadongo KamuAkagaali Lyrics – Willy Mukaabya

Omugongo guntujja guno
N’amagulu ganfamba nze
Alina mukyalawo akola, baaba gyotomanyi
Nkusaba okuva kati, omanyenga gy’akolera
Mwattu nakiguddeko nga ntegedde
Gwe gy’akolera owange
Nalabanga kukeera
Maama neyeekolako omuwala
Ayambadde bu mini
Kko nze gwe mulembe oguliwo
Ebiyita ekiro basajja bannange
Mukyala wange ekiro
Akomawo akooye
Bw’omugambako neyeekanassula
Nensulanga enjala kinnuma nange

Enjala y’ekiro bw’ogimanyi
Mwattu bwetawuza omwami
Lumu nze yannuma
Njagala mmanye gy’akolera omukazi
Omukazi yanvuma
N’annangira ebbuba, mwattu lye nina eringi
Laba bw’annangira obwavu!
Anti omwavu toba na ntondo
Kko nze kambireke
Kasita nfunayo ensimbi
Kkozzi atunda bya maka wo wooo!
Yaalitunze enkoko, oba yaalitunze embuzi
Y’alitunze ente, oba leediyo mu nnyumba
Naatatunda bya mu maka

Akagaali kange nze mmanyi bwe nkeevugira
Buli omu akagaali akavuga bubwe
Mulimu akavuga ng’atinda kitinde
Omulala n’akavuga tasala busirikko
Nalabanga kudda
Nga konna kalagaye nnyo natti!
Bwe mbuuza ku bannange
Bonna bampa lumu amagezi
Nti owange teweerumya njala
Mu wooteeri wabeerayo etundwa
Ate nno tebaseera mwanattu bayamba nnyo
Bandagiridde wooteeri
Mwattu gyezisinga obungi
Nga nessa mu ddene nze kugendayo
Mwattu nabisangayo byanabiwala
Byambadde bu mini atunda ayolesa
Mwanawattu ng’ekiri wali
Nga buli gw’otunuulira
Aboobezza otumere
Ng’eno bwe bampita
Kaasitoma nze njiisizza ewooma
Ate eri na fuleesi!

Wabula olw’erinnya mwattu ne ntyamu
Kko nze bandaba batya mwattu?
Nga ŋŋenda ate mw’ebyo
Ku bbali wali wooteeri mwe baliira ebisava
Nga ndaba nnyini wooteeri
Mwattu ankolereko kw’ekyo
Nga nzira mu wooteeri ninda
Bwe ntuuka mu wooteeri ettaala eyo nagiggyako
Olwo kye saagala
Mwattu wabeerewo akimanya

Eky’omutawaana mwattu ate ekyavaako ttabu
Kkozzi gye ŋŋenze eri
Mwattu gye nnoonya akamere
N’owewange gy’akola
Nze ndi mu wooteeri mpoominga
Mbeera ndi awo, nga bankubako eriwala
Nga tudda mu miwendo kulamuzaganya
Buli ssowaani mwattu ate bw’egulwa
Nga nze mwanawattu ntandika kulya
Mmalawo eno nkwata eri
Mpozzi ekyantiisa ennyo
Yadde enzikiza yaliwo nnyingi
Ng’essowaani mwe ndiira
Nga ninganga agimanyi!
Mpiseeyise emikono, buli we nkwata mpamanyi
Eddoboozi lya waiter, nalyo ninga alimanyi
Bw’assaako leediyo stereo y’oyo gwe manyi
Kko nze ekifaananyi kyassa ensekere, eh eh
Nga nze mwanawattu nnyongera kulya
Mya, mya, mya, mya, mya

Bwe mmala okulya
Kko nze ofumbye nnyo
Kko naye tonsuuliriranga
N’olulala oyitengayo ompagire
Kwekussaako ettaala akebere
Gwe essowaani ze
Agenda okussaako ati ettaala
Buli omu akebera ati ku munne
Nga ye wange yennyini ow’eka!
Oh! oh! oh!!!

Kyenva mwambalira
Ng’omusajja eyeemanyi ekifuba
Kko nze watandika otya omulimu guno?
Gw’eyeebala amagezi!
Bulijjo neebuuza omwana waffe
Yajja wa akabina?
Ogutwe ogunene, ogulinga ebbakuli!
Nakketta dda, leero nkukwasizza nkufunye
N’eridda ewange tolikwata ondiisa otya amalusu?
Nengulanga ennyama, n’ondiisa eggumba
Ye ki ky’onoonya otyo?
Otawuke ng’entaalu!
Yanziramu ng’asiiyira, ng’anywedde kabissi
Okunnyimanga bye njagala nange kindeeta okutala
Kasita siringa nga gwe, anoonyaayo amasanyu
Mba nsituka mwambalire, neewunya nnyo omukazi!
Yambikka ssuuka eno bw’aseka
Bwe mmala okugwa wansi, n’amalamu omusubi
Basajja bannange by’ebyangwako ebyo
Basajja bannange by’ebyangwako nze

Gwe ne maama w’abaana nga mwaswala!
Olwo ku mwembiriri ani gwe gw’asinga?
Amaka g’abasinga tegakyogombwa ebyo by’ebirimu

Gwe ne maama w’abaana nga mwaswala!
Olwo ku mwembiriri ani gwe gw’asinga?
Amaka g’abasinga tegakyogombwa ebyo by’ebirimu

Gwe ne maama w’abaana nga mwaswala!
Olwo ku mwembiriri ani gwe gw’asinga?
Amaka g’abasinga tegakyogombwa ebyo by’ebirimu

Popular posts

My favorites

We're social

0FansLike
211FollowersFollow
0SubscribersSubscribe