Obulamu tebunyuma
Kumulimu ngendayo, Lwa boss tangoba
Laba nzena napeeluka,
Nebizigo byanemwa nakosama..
Wentuuka ewaka, Ebilowoozo bidukilawo nenetamwa..
Ngengako okwegumya,
Naye olusulwo lwalemelayo eno jensula..
Buli wentula mu kasonda
Nkubya bufananyi obulili wewatula nga
Mumutwe gwange byagana okufadinga..
Banga ddene naye nganye healinga..
Kinuma nyo bwendowooza
Nti obuzanyo bwaffe bwetwali twasettinga..
Wasomesa oyo muzanya mu smilinga..
Kilabika negulu libawagila..
Ddala Lwaki nakusanga? (Why)
Lwaki olemede kumutwe gwange nga wankyawa?
Lwaki omwenya nga Simwenya,
Wandekela bulumi ntobe nzeka…
Biluma, biluma, Ooh Biluma
Omutima eno guluma, guluma, ooh Guluma…
Biluma, Biluma ooh biluma
Omutima eno Guluma, Guluma ooh Guluma….
Nsiba eno mukiwubalo
Ng’eyo ewamwe everyday lyafuuka gandalo…
Nali nkumanyi mubuli nyingo
Kati Onjokesa kasana nga ali kukatandalo….
Mukwano Nkyalogotana, Oba kyejo..
N’abawala banemwa lwa linyalyo elyo
Nsobya nendibayita, nebankyawilawo
Libanyiza buli wendyogelako..
Nemikwano jo najikolomila, tejandabula,
Gyawagila eyakuntwalako.
Tebangamba, yiiii
Nga ate bebali bampaana aah
Ddala lwaki nakusanga, (Why)…